Exodus 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwogere eri ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, mubagambe nti: ‘Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli musajja addiranga akaliga ku lw'ennyumba za bajjajjaabe, kamu buli nnyumba:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri nti, Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, balyetwalira mu buli nnyumba omwana gw'endiga gumu, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe ziri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutegeeze ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli ssemaka alonde endiga ento olw'ab'omu maka ge, endiga ento emu buli maka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba: