Exodus 12:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro ekyo, Faraawo n'atumya Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Musituke mmwe n'Abayisirayeli muve mu bantu bange; mugende musinze Omukama nga bwe mwali musabye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayita Musa ne Alooni ekiro ekyo, n'abagamba nti, “Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro ekyo kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Musituke, muve mu bantu bange, mmwe mwembi n'Abayisirayeli, mugende muweereze Mukama, nga bwe mwasaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.