Exodus 12:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamisiri nabo ne bapikiriza abantu banguwe, bave mu nsi nga bagamba nti: “Sikulwa nga ffenna tufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamisiri ne bakubiriza Abaisiraeri banguwe okuva mu nsi; kubanga baayogera nti, “Ffenna tujja kufa, singa temugenda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamisiri ne bakubiriza abantu banguwe okuva mu Misiri, kubanga baagamba nti: “Tujja kufa ffenna!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna.