Exodus 12:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yawa abantu omukisa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baabasaba, ne baaya bwe batyo Abamisiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa byonna bye baabasaba. Ne banyaga Abamisiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abawa okwagalibwa mu Bamisiri, ne babawa bye baasaba. Bwe batyo Abayisirayeli ne batwala ebyobugagga by'Abamisiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri.