Exodus 12:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne batambula okuva e Raamesesi ne balaga e Sukkoti, nga bawera obusiriivu mukaaga abaali ku bigere, abasajja bokka obutabala bakazi na baana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Lameseesi okutuuka e Sukkosi. Baali abasajja obusiriivu mukaaga (600,000), abaatambula n'ebigere nga tobaze bakazi na baana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne batambuza bigere okuva e Rameseesi okutuuka e Sukkoti. Baali abasajja emitwalo nga nkaaga, nga tobaze bakazi na baana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana.