Exodus 12:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu abalala bangi ne bambuka nabo, ssaako amagana g'endiga n'ag'ente mangi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ekibiina kinene ekya bannamawanga ne kigenda nabo, n'endiga, n'ente, n'ebisibo bingi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo ab'ekintabuli ne bagenda wamu nabo, n'amagana g'endiga n'embuzi n'ente.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo.