Exodus 12:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bafumba obutta bwe baali baggye e Misiri, ne bakola obugaati obutazimbulukuse kubanga tebaalina kizimbulukusa, anti Abamisiri baabagobaganya nga tebasobola kulwa oba kwekolera ntanda n'emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bafumba emigaati egitaliimu kizimbulukusa n'obutta bwe baggya e Misiri, kubanga tebaalina budde kussaamu kizimbulukusa, kubanga bagobebwa mangu okuva mu Misiri, era baali tebannaba kwefumbira mmere yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bafumba emigaati egitazimbulukusiddwa, nga batoola ku buwunga obugoyeddwa, bwe baggya mu Misiri, kubanga baagobwa mangu mu Misiri nga tebannaba kubuteekamu kizimbulukusa, era nga tebannaba kwefumbira mmere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna: