Exodus 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba mu nnyumba abalimu batono nga tebamalaawo kaliga, yeegattanga ne muliraanwa we asinga okumuba okumpi, okusinziira ku bungi bw'abantu. Obunene bw'akaliga mulibugerera ku buli omu ky'asobola okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba bw'eneebeerangamu abantu abatono nga teemaleewo mwana gw'endiga omulamba, kale beegatte ku nnyumba ya mulirwaana waabwe, babalirwe ku muwendo gw'abantu abali mu nnyumba eyo, baliire wamu omwana gw'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu maka ge bwe baba abatono nga tebaamaleewo ndiga nto eyo, beegatta n'ab'omu maka ga muliraanwa we, okusinziira ku bantu nga bwe benkana obungi, ne ku buli omu nga bw'asobola okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga.