Exodus 12:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Misiri Abayisirayeli baali bamazeemu ebbanga lya myaka ebikumi bina mu asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emyaka abaana ba Isiraeri gye baamala mu Misiri gyali bina mu asatu (430).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baali bamaze emyaka ebikumi bina mu asatu mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina mu asatu.