Exodus 12:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ku lunaku olwo lwennyini emyaka ebikumi ebina mu asatu lwe gyawererako, eggye lyonna ery'Omukama lwe lyava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emyaka ebina mu asatu (430) bwe gyaggwako, ku lunaku olwo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne kiryoka kiva e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo lwennyini emyaka egyo ebikumi ebina mu asatu lwe gyaggwaako, ebika byonna eby'abantu ba Mukama ne biryoka biva mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri.