Exodus 12:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro kino Abayisirayeli ba kukimalangako nga batunula olw'okugulumiza Omukama kubanga yakimalako ng'atunula ng'abaggya mu nsi y'e Misiri. Awo nno Abayisirayeli bonna ba kukikuzanga nga batunula mu mazadde gonna agalijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiro ekyo Mukama kye yaggyiramu abaana ba Isiraeri mu Misiri, munaakikwatanga mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyali ekiro Mukama kye yakuumiramu okubaggya mu Misiri. N'olwekyo ekiro ekyo kyennyini kinaakuumibwanga Abayisirayeli nga kya Mukama mu biseera byabwe byonna eby'omu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukama ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna.