Exodus 12:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omuddu yenna eyagulwa obugulibwa ne ssente, ayinza okwetabamu bw'aba nga mwamutayirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okukomolebwa, n'alyoka agiryako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuddu gwe mwagula anaagiryangako, nga mumaze kumukomola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako.