Exodus 12:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya kuliirwa mu nnyumba emu yokka, awatali kufulumya bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo. Temumenyangako ggumba na limu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eneeriirwanga mu nnyumba mw'ettiddwa. Temufulumyanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo, era temumenyanga ggumba lyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eneeriirwanga mu nnyumba mw'eteekeddwateekeddwa. Temuufulumyenga bweru wa nnyumba ku nnyama ya mbaga eyo, era temuumenyenga ggumba na limu ery'ennyama eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo.