Exodus 12:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabangawo omugwira mu mmwe ate ng'ayagala okukuza Pasika ku lw'Omukama, buli musajja yenna ow'omu maka ge, ateekwa kubeera nga mutayirire olwo lw'ayinza okukkirizibwa ku mukolo, kubanga afuuse ng'omuzaaliranwa. Naye atali mutayirire, talyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okukwata embaga ey'okuyitako, bw'anaabanga omusajja anaamalanga kukomolebwa alyoke akwate embaga eyo; olwo anaabanga ng'enzaalwa; naye atali mukomole yenna tagiryangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omusajja atali mukomole taagiryengako. Omugwira asenze mu mmwe, bw'anaayagalanga okukuza Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, okugulumiza Mukama, abasajja bonna ab'omu maka ge, banaamalanga kukomolebwa. Olwo anaayisibwanga ng'Omuyisirayeli enzaalwa, n'akkirizibwa okugikuza. Naye atali mukomole, taagiryengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako.