Exodus 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaliga kabanga kalume, ka mwaka gumu akataliiko kamogo; muyinza n'okulonda akabuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, guliba musajja oguwezezza omwaka, nga teguliiko bulema,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyinza okulonda endiga ento oba embuzi ento eya sseddume, nga ya mwaka gumu, era nga teriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: