Exodus 12:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bonna ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa ne Aroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne bawulira, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.