Exodus 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baddiranga ku musaayi gwako ne bagussa ku myango gyombi, ogw'obusimba n'ogw'obukiika, eby'ennyumba eyo mwe bakaliiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balitwala ku musaayi, bagusiige ku myango gy'enzigi ne waggulu, mu nnyumba mwe baliguliira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu batoole ku musaayi basiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi ez'ennyumba mwe banaaguliira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balitwala ku musaayi, baguteeke ku mifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira.