Exodus 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temulyangako katundu kaayo n'akamu nga kabisi oba nga kafumbe mu mazzi, wabula nga kookye ku muliro, omutwe n'ebigere n'ebyenda byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temugiryangako nga mbisi newakubadde enfumbe n'amazzi, wabula enjokye n'omuliro; n'omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temugirya nga mbisi oba nga nfumbe mu mazzi, wabula nga njokye yonna ku muliro: n'omutwe n'ebigere, n'ebyomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi wabula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo.