Exodus 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana wo bw'akubuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Omuddangamu nti: ‘Omukama yatuggya mu nsi y'obuddu n'obuyinza obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti, ‘Kiki kino?’ Onoomugambanga nti, ‘Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu biseera ebijja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Munaabaddangamu nti: ‘Mukama yakozesa obuyinza bwe obw'amaanyi n'atuggya mu Misiri, mwe twafugirwanga obuddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: