Exodus 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo bwe yagugubya omutima n'atatuleka kugenda, Omukama yatta ebiggulanda byonna eby'olubuto mu nsi y'e Misiri: omuntu n'ensolo. Kyenva ntambirira Omukama buli kisolo ekisajja ekiggulanda na buli muggulanda mu baana bange ne mbanunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, olw'empaka za Falaawo, bwe yagaanira ddala okutuleka, Mukama kwe kutta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo; Mukama kyenva mmuwa buli kiggulanda ekisajja okuba ssaddaaka, naye ababereberye b'abaana baffe bonna tubanunula.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri bwe yaguguba, n'agaana okutuleka okugenda, Mukama n'atta mu nsi y'e Misiri abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi, n'ensolo zonna eza sseddume ezisooka okuzaalibwa. Kyetuva tuwaayo ekitambiro eri Mukama ekya buli kisolo ekya sseddume ekisooka okuzaalibwa, naye ne tununula abaana baffe abaggulanda bonna ab'obulenzi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo alwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula.