Exodus 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukolo guliba ng'akabonero k'osiba ku mukono oba ng'ekintu ky'osiba ku kyenyi kyo kikujjukize, kubanga Omukama yatuggya mu Misiri n'obuyinza bungi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, oba mu kyenyi kyo; kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekyo kinaabanga ng'akabonero akateekebwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi byammwe, okubajjukizanga nga Mukama bwe yabaggya mu Misiri, ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri.