Exodus 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo bwe yaleka abantu okugenda, Katonda teyabakwasa kkubo liraga mu nsi y'Abafilisitiini, newandibadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yalowooza nti: “Bwe banaalaba obulabi ku lutalo bayinza okukyusa ekirowoozo ne baddayo mu Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi. Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti, “Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka w'e Misiri bwe yamala okuleka abantu okugenda, Katonda n'atabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y'Abafilistiya, newaakubadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yagamba nti: “Sikulwa ng'abantu bakyusa ebirowoozo byabwe, ne baddayo e Misiri, bwe baliraba nga bateekwa okulwana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri: