Exodus 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyeyava abakwasa ekkubo ery'eddungu eryetooloola okutuuka ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa. Abayisirayeli baava mu Misiri nga bambalidde ddala ebyokulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda neyeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu; abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina eby'okulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyeyava abeekooloobesa mu kkubo ery'omu ddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu. Abayisirayeli baava mu nsi ey'e Misiri nga balina ebyokulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.