Exodus 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa amagumba ga Yozefu yagenda nago. Yozefu yali alayizza Abayisirayeli ekirayiro. Yali agambye nti: “Mazima Katonda agenda kubalambula. Amagumba gange mugatwalanga okuva wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye; kubanga yabalayiriza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti, “Katonda talirema kubalabikira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga bagenda, Musa n'atwala amagumba ga Yosefu, nga Yosefu bwe yalayiza Abayisirayeli ng'agamba nti: “Katonda bw'alibanunula, mutwalanga amagumba gange nga muva wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.