Exodus 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mpongera buli kiggulanda kyonna, ekiggulanda ekya buli lubuto eky'Abayisirayeli: abeere muntu oba kisolo, kyange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo, ye wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Onompanga abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi. Mu Bayisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuggulanda wange. Era n'ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange.