Exodus 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emisana Omukama yabakulemberangamu mu mpagi y'ekire okubalaga ekkubo, ate ekiro mu mpagi ey'omuliro okubamulisa, basobole okutambula bubeere misana oba kiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abakulembera emisana mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, era n'ekiro mu mpagi ey'omuliro okubaakira; balyoke batambule emisana n'ekiro;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisana Mukama n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, ekiro n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'omuliro okubawa ekitangaala, balyoke basobole okutambula emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro;