Exodus 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, mu nnyumba y'obuddu, kubanga Omukama yabaggyayo n'obuyinza bungi. Temulyanga nno kintu kirimu kizimbulukusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yabaggya mu kifo ekyo; tebalyanga ku migaati egizimbulukusibbwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugirwamu obuddu. Mukama yabaggya mu nsi eyo ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Ku lunaku luno temuulyenga migaati gizimbulukusiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa.