Exodus 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero, mu mwezi gwa Abibu, lwe muvaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luno, mu mwezi ogwa Abibu lwe munaavaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku luno mu mwezi ogwa Abibu, lwe munaagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu.