Exodus 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo nno Omukama bw'akutuusanga mu nsi y'Abakanaani, Abakitti, Abaamori, Abakivi, n'Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjaabo nti aligikuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okuzanga omukolo guno mu mwezi guno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abahiivi, n'Abayebusi, gye yalayirira bajjajjammwe nti aligibawa mmwe, ensi engagga era engimu, munaakolanga omukolo guno mu mwezi guno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.