Exodus 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugaati ogutazimbulukuse gwe gw'okulyanga ennaku ezo omusanvu. Tewali kirimu kizimbulukusa n'ekimu kirabikanga mu mmwe, wadde ekizimbulukusa mu kitundu kyammwe kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emigaati egitazimbulukusiddwa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukusibbwa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emigaati egitazimbulukusiddwa gye ginaaliibwanga mu nnaku ezo omusanvu. Tewaabenga migaati gizimbulukusiddwa, wadde ekizimbulukusa mu nsi yammwe yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.