Exodus 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era ku olwo onnyonnyolanga omwana wo nti: ‘Kubanga Omukama ekyo kye yankolera lwe nava mu nsi y'e Misiri.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoomugambanga omwana wo ku lunaku luli nti, ‘kino nkikola olw'ebyo mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, munannyonnyolanga abaana bammwe nti: ‘Kino tukikola olw'ebyo Mukama bye yatukolera bwe twava mu Misiri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.