Exodus 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukolo guno guliba ng'akabonero k'osibye ku mukono gwo oba ng'ekijjukizo ky'osibye ku kyenyi, etteeka ly'Omukama ne litakuva ku mimwa olubeerera, kubanga Omukama yakuggya mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo mu kyenyi kyo, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yakuggya mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kinaabanga ng'akabonero akateekeddwa ku mukono gwo oba mu kyenyi kyo, kikujjukizenga okwatulanga amateeka ga Mukama, ge wayiga, kubanga Mukama yakuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri.