Exodus 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo bwe yasembera okumpi, Abayisirayeli okusitula amaaso, nga ku Bamisiri, babawondera; ne batya nnyo, ne balaajanira Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera emabega waabwe; ne batya nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabirira Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baayimusa amaaso gaabwe, ne balaba kabaka w'e Misiri n'eggye lye nga babawondera, era nga basembedde, ne batya, ne bakaabirira Mukama abayambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera ennyuma waabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.