Exodus 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino si kye twakugamba e Misiri nti nno tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri kubanga okubakolera kyandisingako, okusinga okufiira mu ddungu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri?’ Kubanga kirungi okuweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino si kye twakugamba nga tukyali mu Misiri nti tuleke tuweereze Abamisiri? Waakiri okuweereza Abamisiri, okusinga okufiira mu ddungu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti Tuleke tuweereze Abamisiri? Kubanga kirungi okubaweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.