Exodus 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addamu abantu nti: “Temutya, mugume. Munaalaba Omukama ky'anaabakolera okubawonya; Abamisiri be mulabyeko olwa leero, temujja kuddayo kubalaba emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abantu nti, “Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero; kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba abantu nti: “Temutya! Muyimirire buyimirizi mulyoke mulabe Mukama ky'anaakola okubalokola olwaleero, kubanga Abamisiri be mulaba kaakano, temuliddayo kubalabako nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero: kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna.