Exodus 14:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe situla omuggo gwo, gololera omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu, Abayisirayeli, basomoke ennyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu; n'abaana ba Isiraeri banaayita wakati mu nnyanja nga ku lukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era situla omuggo gwo, ogugolole ku nnyanja, ogyawulemu wabiri, Abayisirayeli bagiyitemu nga nkalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu: n'abaana ba Isiraeri banaagenda wakati w'ennyanja ku lukalu.