Exodus 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nnaamala okwefunira ekitiibwa ku Faraawo n'ebigaali bye n'eggye lye, Abamisiri banaayiga nga nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamisiri banaamanya nga Nze MUKAMA, bwe nnaamala okuwangula kabaka n'amagaali ge n'abantu be abeebagadde embalaasi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abamisiri balimanya nga nze Mukama bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.