Exodus 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo malayika w'Omukama eyali atambulira mu maaso g'eggye lya Yisirayeli, n'akyusa ekifo, n'adda ennyuma. Empagi y'ekire n'ekyusa ekifo ng'eva mu maaso ne yeesimba ennyuma waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda emabega waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama eyakulemberamu eggye ly'Abayisirayeli, n'avaayo n'adda emabega waabwe. N'empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda ennyuma waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira ennyuma waabwe;