Exodus 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli badde emabega basiisire mu maaso ga Pi-Akiroti, wakati wa Migudoli n'ennyanja ng'otunuulidde Baali-Zefoni; mujja kussa olusiisira mu maaso g'ekifo ekyo ku nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bagambe abaana ba Isiraeri badde emabega basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni; emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli badde emabega, basiisire mu maaso ga Pihahirooti, wakati wa Migidooli n'Ennyanja Emmyufu, okumpi ne Baali Zefoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni: emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.