Exodus 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agololera omukono gwe ku nnyanja, Omukama n'afuuwa eri ennyanja n'empewo ey'amaanyi ey'ebuvanjuba ekiro kyonna, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, Mukama n'asindika ku nnyanja omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba. Ne gukunta ekiro kyonna, ennyanja n'agifuula olukalu: amazzi ne geeyawulamu wabiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.