Exodus 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne batambulira ku ttaka ekkalu mu nnyanja wakati ng'amazzi gakoze ebisenge ku ddyo waabwe ne ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu, amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bayita wakati mu nnyanja, amazzi ne gakola ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.