Exodus 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Gololera omukono gwo ku nnyanja, amazzi gaddeyo, gabuutikire Abamisiri, ebigaali byabwe n'abeebagazi baabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja amazzi gadde, geeyiwe ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku bantu baabwe abeebagadde embalaasi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.