Exodus 14:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agololera omukono gwe ku nnyanja. Obudde nga bukya, ennyanja n'edda mu kifo kyayo. Abamisiri bwe baali badduka ne bagiyingirira butereevu; Omukama n'asulinka Abamisiri wakati mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, era ku makya, ennyanja n'edda mu mbeera yaayo eya bulijjo. Abamisiri ne bagezaako okugidduka, naye Mukama n'agibasuulamu wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.