Exodus 14:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi bwe gaakomawo, ne gabikka ebigaali n'abeebagazi b'eggye lya Faraawo lyonna eryali liwondedde Abayisirayeli mu nnyanja, ne wataba n'omu ku bo awonawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja emabega waabwe; tewaasigala n'omu ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali n'abeebagadde embalaasi, era n'eggye lya kabaka w'e Misiri lyonna, eryawondera Abayisirayeli mu nnyanja, ne watawonawo n'omu ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo.