Exodus 14:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo Abayisirayeli baali bayise mu nnyanja wakati ku ttaka ekkalu ng'amazzi gakoze ebisenge ku ddyo waabwe ne ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli ne batambulira awakalu okuyita mu nnyanja, ng'amazzi gabakoledde ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.