Exodus 14:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yalaba ekikolwa ekikulu Omukama kye yali akoze Abamisiri; abantu ne batya Katonda, ne bakkiriza Omukama ne Musa omuweereza we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne batya Mukama; ne bamukkiriza Mukama, n'omuddu we Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baalaba obuyinza obw'amaanyi, Mukama bwe yawanguzisa Abamisiri, ne batya Mukama, era ne bamukkiriza, ne bakkiriza ne Musa omuweereza we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama n'omuddu we Musa.