Exodus 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukakanyaza omutima gwa Faraawo abawondere, nzija kwefunira ekitiibwa mu Faraawo n'eggye lye. Abamisiri bajja kutegeera nti nze Mukama.” Abayisirayeli ne bakola batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera emabega waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama.” Bwe batyo bwe baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukakanyaza kabaka omutima abawondere, ndyoke mpangule kabaka n'eggye lye, nneefunire ekitiibwa. N'Abamisiri balimanya nga Nze MUKAMA.” Abayisirayeli ne bakola bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola.