Exodus 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Misiri bwe baamubuulira nti abantu badduse, Faraawo n'abakungu be ne bakyusa endowooza yaabwe ku bantu, ne bagamba nti: “Kiki kino kye tukoze? Tukkirizza abantu bano ne bagenda, ne baleka wano emirimu gyaffe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba kabaka w'e Misiri nti abantu badduse; omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri bwe baamubuulira nti abantu badduse, ye n'abakungu be ne bakyusa ekirowoozo, ne bagamba nti: “Kiki kino kye tukoze? Tulese Abayisirayeli bagende, baleme kutuweereza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba kabaka w'e Misiri nti Abantu badduse: omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?