Exodus 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Faraawo n'ategeka ekigaali kye, n'akuŋŋaanya abatabaazi be,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'ateekateeka amagaali ge n'eggye lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye: