Exodus 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atwala ebigaali lukaaga ebirondobe, n'ebigaali ebirala byonna mu Misiri, buli kimu nga kiriko abagabe basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atwala amagaali lukaaga (600) amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atwala amagaali gonna ag'e Misiri, omuli n'ago olukaaga, agasingira ddala obulungi, nga gaduumirwa abakulu b'abaserikale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atwala amagaali lukaaga amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna.